Job 42

Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu

1Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

2 a“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,
era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
3 bWabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’
Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera,
ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.

4 c“Wulira nkwegayiridde,
nange mbeeko kye nkubuuza,
onziremu.
5 dAmatu gange gaali gaakuwulirako dda,
naye kaakano amaaso gange gakulabye.
6 eKyenvudde neenyooma
era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”
7 fNga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. 8 gNoolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” 9Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.

10 hAwo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. 11 iAwo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.

12Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi. 13Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu. 14Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu. 15Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.

16Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe. 17 jN’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.

Copyright information for LugEEEE